1 Bassekabaka 16:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Awo olwatuuka nga kyajje atuule ku ntebe ey’obwakabaka n’atta abantu b’ennyumba ya Baasa bonna, obutalekaawo musajja n’omu wa luganda lwa Baasa wadde mikwano gye.
Read full chapter
1 Bassekabaka 14:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)“ ‘Kyendiva nsanyaawo ennyumba ya Yerobowaamu, era ndiggyawo ku Yerobowaamu buli mwana owoobulenzi yenna mu Isirayiri, omuddu n’atali muddu. Ndiyokya ennyumba ya Yerobowaamu, ng’omuntu bw’ayokya obusa, okutuusa lwe liggweerawo ddala.
Read full chapter
1 Bassekabaka 15:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)Amangwago nga kyajje alye obwakabaka, n’atta ennyumba ya Yerobowaamu yonna n’atalekaawo muntu n’omu omulamu. Yabazikiriza bonna ng’ekigambo kya Mukama kye yayogerera mu muddu we Akiya Omusiiro,
Read full chapter
1 Bassekabaka 21:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Ndifuula ennyumba yo okuba nga eya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n’eya Baasa mutabani wa Akiya, olw’okusunguwaza kwe wansunguwaza bwe wayonoonyesa Isirayiri.’
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.