Abaruumi 14:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu.
Read full chapter
Abaruumi 15:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko[a], mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu.
Read full chapterFootnotes
- 15:19 Iruliko: mu biro bino y’ensi ya Yugosiloviya mu nsi z’Ebulaaya
1 Abakkolinso 2:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Era okubuulira kwange n’okuyigiriza tebyali mu bigambo bya magezi ebisendasenda, naye byali mu maanyi ne Mwoyo Mutukuvu,
Read full chapter
1 Basessaloniika 1:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.