Ekyamateeka Olwokubiri 28:61
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
61 (A)Era Mukama anaakuleeteranga endwadde eza buli ngeri, n’ebibonoobono ebitawandiikiddwa mu Kitabo eky’Amateeka gano, okutuusa lw’olizikirizibwa.
Read full chapter
Okubala 26:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Kyokka olunyiriri lwa Koola terwazikiririra ddala lwonna.
Yobu 21:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Leka amaaso ge ye yennyini galabe okuzikirira;
leka anywe ku kiruyi kya Ayinzabyonna.
Yeremiya 31:30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
30 (A)Wabula buli muntu alifa olw’obutali butuukirivu bwe ye, buli muntu alya ezabbibu erinyenyeeza amannyo, amannyo ge galinyenyeera.
Read full chapter
Yeremiya 44:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)olw’ebibi bye baakola. Bankwasa obusungu olw’okwotereza bakatonda abalala obubaane n’okusinza, bo newaakubadde mmwe wadde bajjajjammwe be batamanyangako.
Read full chapter
Ezeekyeri 18:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Buli kiramu, kyange; obulamu bw’omuzadde n’obw’omwana bwonna nabwo bwange.
Read full chapter
Ezeekyeri 18:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Emmeeme eyonoona ye erifa. Omwana talibonaabona olw’ebibi bya kitaawe, so ne kitaawe talibonaabona olw’ebibi eby’omwana we. Obutuukirivu bw’omuntu omutuukirivu bulibalirwa ye, n’obutali butuukirivu bw’oyo atali mutuukirivu bulibalirwa ye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.