Okuva 23:14-19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Amateeka ku Mbaga Enkulu Essatu eza Buli Mwaka
14 (A)“Ononkoleranga embaga emirundi esatu buli mwaka.
15 (B)“Onookolanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse. Onoolyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, nga bwe nakulagira. Kino okikolanga mu kiseera ekyategekebwa, mu mwezi gwa Abibu, kubanga mu mwezi ogwo mwe waviira mu nsi y’e Misiri.
“Tewabangawo ajja gye ndi engalo ensa.
16 (C)“Onookolanga Embaga ey’Amakungula[a] ey’ebibala ebibereberye eby’ebirime bye wasiga mu nnimiro yo.
“Onookolanga Embaga ey’Amayingiza[b] buli nkomerero ya mwaka, bw’onookuŋŋaanyanga ebibala by’omu nnimiro, n’obiyingiza.
17 (D)“Abasajja bonna banajjanga awali Mukama Katonda emirundi egyo esatu buli mwaka.
18 (E)“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; n’amasavu aga ssaddaaka yange tegasulangawo kutuusa nkeera.
19 (F)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbanga akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako.[c]
Read full chapterFootnotes
- 23:16 Embaga ey’Amakungula y’emu yeeyitibwa Embaga eya Wiiki (34:22) kubanga Embaga ey’Amakungula yabangawo oluvannyuma lw’Embaga ey’Okuyitako, ng’okukungula kwa kaggwa
- 23:16 Embaga ey’Amayingiza yabangawo ng’okukungula kwa kaggwa.
- 23:19 Okufumba akaana k’embuzi mu mata ga nnyina waako yali mpisa y’Abakanani
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.