Isaaya 28:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Zikusanze Efulayimu
28 (A)Zikusanze engule ey’amalala g’abatamiivu aba Efulayimu,
zikusanze ekimuli ekiwotoka[a] eky’obulungi bw’ekitiibwa kye,
ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,
Zikusanze ekibuga ky’abo abatamiivu.
Footnotes
- 28:1 Ekimuli ekiwotoka, ye Samaliya.
Isaaya 28:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ne bano nabo batagala olw’omwenge,
era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
batagala ne bava mu kwolesebwa,
era tebasalawo nsonga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.