Isaaya 28:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mu biro ebyo Mukama Katonda ow’Eggye
aliba ngule ya kitiibwa,
engule ennungi
ey’abantu be abaasigalawo.
Zekkaliya 9:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be
ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.
Balitangalijja mu nsi ye,
ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
1 Basessaloniika 2:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe?
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.