Mikka 6:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Zekkaliya 7:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Musalenga emisango egy’ensonga, mukwatirweganenga ekisa n’okusaasiragananga buli muntu eri muganda we.
Read full chapter
Zabbuli 72:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Anaalwaniriranga abaavu,
n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Yeremiya 21:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)ggwe ennyumba ya Dawudi,
“ ‘kino Mukama ky’agamba:
Musale emisango mu bwenkanya,
mununule ababa banyagiddwa ababanyigiriza,
obusungu bwange buleme kuvaayo
bubookye ng’omuliro olw’ekibi kye mukoze,
nga tewakyali n’omu abuziyiza.
Okuva 22:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.