Mikka 7:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.
Zabbuli 105:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
Zabbuli 105:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
Zabbuli 106:45
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
45 (A)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
Ezeekyeri 16:60
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
60 (A)Naye ndijjukira endagaano gye nakola naawe mu biseera eby’obuvubuka bwo, era ndissaawo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.