Okuva 12:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi.
Read full chapter
Okuva 12:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Mu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, okutuusa ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu olw’omwezi ogwo.
Read full chapter
Ebyabaleevi 23:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 16:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Embaga ey’Okuyitako
16 (A)Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.