Okuva 20:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
Okuva 20:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Temwekoleranga bakatonda balala wendi; temwekoleranga bakatonda ba ffeeza oba bakatonda ba zaabu.
Read full chapter
Okuva 34:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.
Read full chapter
Ebyabaleevi 26:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emikisa Egiva mu Buwulize
26 (A)“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe.
Read full chapter
Zabbuli 96:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
naye Mukama ye yakola eggulu.
Zabbuli 115:4-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 (B)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.