Okuva 20:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
Okuva 34:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)“Temwekoleranga bakatonda mu byuma ebisaanuuse.
Read full chapter
Ebyabaleevi 19:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)“Temulaganga mu bitali Katonda, era temwekoleranga bakatonda abaweese mu kyuma ekisaanuuse. Nze Mukama Katonda wammwe.
Read full chapter
Ebyabaleevi 26:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emikisa Egiva mu Buwulize
26 (A)“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 4:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)mulemenga okweyonoona nga mwekolera bakatonda abalala, aba buli ngeri, abali mu bifaananyi ebiri ng’omusajja oba ng’omukazi,
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 4:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Mwegenderezanga nnyo ne muteerabira ndagaano ya Mukama Katonda wammwe gye yakola nammwe. Temwekoleranga bitali Katonda mu kufaanaanyiriza okw’ekintu kyonna Mukama Katonda wo kye yakugaana okukola.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi.
Isaaya 44:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.