Omubuulizi 5:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
wadde omutima gwo ogwanguyiriza,
okwogera ekigambo mu maaso ga Katonda.
Katonda ali mu ggulu
ng’ate ggwe oli ku nsi;
kale ebigambo byo bibeerenga bitono.
Omubuulizi 5:4-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo. 5 (B)Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.