Yeremiya 21:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
Read full chapter
Yeremiya 32:4-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Zeddekiya kabaka wa Yuda tajja kuwona mikono gy’Abakaludaaya naye ddala wa kuweebwayo eri kabaka w’e Babulooni era ajja kwogera naye, balabagane amaaso n’amaaso. 5 (B)Alitwala Zeddekiya mu Babulooni, gy’alisigala okutuusa lwe ndimujjira. Bwe munaalwanyisa Abakaludaaya, temujja kuwangula,’ bw’ayogera Mukama.”
Read full chapter
Ezeekyeri 12:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Bagambe nti, ‘Ndi kabonero gye muli.’
“Nga bwe nkoze, nabo bwe balikibakola. Baliwaŋŋangusibwa ne batwalibwa nga bawambe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.