Yeremiya 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Naye wadde nga byonna bimaze okubaawo, muganda we Yuda atali mwesigwa, teyakomawo gye ndi na mutima gwe gwonna, naye yali alimbalimba,” bw’ayogera Mukama.
Read full chapter
Amosi 2:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Bagalamira okumpi ne buli kyoto
ku ngoye ezaweebwayo ng’obweyamo.
Mu nnyumba ya bakatonda baabwe
mwe banywera omwenge oguleetebwa abatanziddwa.
Koseya 13:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Abantu b’e Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe
kubanga bajeemedde Katonda waabwe.
Balittibwa n’ekitala, n’abaana baabwe abato balibetentebwa,
n’abakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.