Yobu 18:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde,
era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
Engero 2:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)abaleka amakubo ag’obutuukirivu
ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
Isaaya 59:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Amazima gatuli wala,
n’obutuukirivu tetubufunye.
Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko,
we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10 (B)Tuwammantawammanta bbugwe ng’abazibe,
ne tukwatakwata ng’abatalina maaso;
twesittala mu ttuntu ng’ekiro mu abo abalina amaanyi
ne tuba ng’abafu.
Yokaana 12:35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 (A)Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.