Zabbuli 73:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
Zabbuli 5:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
Yobu 15:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Wa kusasulwa byonna ng’obudde tebunnatuuka,
n’amatabi ge tegalikula.
Engero 10:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
Zabbuli 25:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.